Ekizimbe ekibbuddwamu Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ku St. Peter’s SS Bombo Kalule

Date:

Okutongoza ekizimbe Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II A Level Complex ku St.Peter’s Bombo Kalule kyekigguddewo ebijaguzo by’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’omulundi ogwe 70.

Ssaabasajja Kabaka mu bubaka bwatisse Nnaalinnya Victoria Nkiinzi ku mikolo gy’okuggulawo ekizimbe, yebazizza Katonda olw’obulamu bwamuwadde obw’ebibala naddala okutambulira mu buwuufu obw’okusitula ebyenjigiriza.

Ssaabasajja yebazizza Omulangira Mulondo olw’okukulaakulanya essomero eryamuweebwa Radio y’Obwakabaka, bweyawangula empaka z’olulimi Oluganda mu ppulogulaamu Entanda ya Buganda mu mwaka 2009.

Nnaalinnya Victoria Nkiinzi ku mukolo gw’okuggulawo ekizimbe Kabaka Ronald Mutebi II ku ssomero lya Bombo Kalule

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akinogaanyizza nti Obwakabaka bwa Buganda butadde nnyo essira mu kusitula Omutindo gw’ebyenjigiriza.

Endabika y’ekizimbe obudde obw’ekiro ku St.Peter’s SS Bombo Kalule

Omutandisi w’Essomero St Peters SS Bombo Kalule era Omwami wa Kabaka akulembera essaza Bulemeezi Kangaawo Omulangira Ronald Mulondo yebazizza Beene olw’Okusiima nabbula erinnya lye mu kizimbe, ekifudde essomero lino eryenjawulo.

Owek.Cotilda Nakate Kikomeko minister w’ebyenjigiriza mu Buganda

Omukolo guno gutandise nakusimba miti ku ssomero nga kukulembeddwamu Nnaalinnya Victoria Nkinzi.

Gwetabiddwako Nnaalinnya Agnes Nnabaloga , Abalangira n’Abambejja , Omumyuka owookubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule ne ba minister ba Kabaka  abaliko n’abaawummula, Bannaddiini, bannabyabufuzi, Abakulira ebyenjigiriza ku mitendera egyenjawulo n’Abantu ba Kabaka abalala bangi.

Share post:

Popular

Also Read

Pastor Wilson Bugembe Concert Sells Out, Announces Second Serena Show at Reduced Price

City pastor and musician Wilson Bugembe has announced a...

Reggae MC Fullstop Dies After Long Battle With TB

Kenyans are mourning the death of one of the...

Kabaka Mutebi under Fire: NUP’s Mufumbiro Threatens to Dismantle Buganda Kingdom if NUP Takes Power

In a shocking and reckless outburst, Alex Waiswa Mufumbiro,...

Workers under Uganda Local Government Workers Union threaten to down tools over low pay

Hassan Lwabayi Mudiba, General Secretary of the Uganda Local...
Verified by MonsterInsights