Ekisaakaate kya Nnaabagereka ekya Gatonnya 2026 kitongozeddwa, ku mulamwa ogugamba nti “Ensibuko y’obumalirivu, n’okweyamba obuntubulamu mu kutebenkeza obwongo”.
Ekisaakaate kitongozeddwa minister w’Abavubuka Eby’emizannyo n’ebitone mu Buganda Owek. Ssaalongo Robert Sserwanga akiikiridde Nnaabagereka Sylivia Nagginda.
Omukolo guyindidde mu Bulange e Mengo.
Ekisaakaate Gatonnya 2026 embuga yaakyo yaakukubwa ku ssomero lya Hemisdalen e Gayaza okuva nga 3 okutuuka nga 17 Gatonnya.
Owek. Sserwanga akubirizza abazadde okwongera okubeera mu bulamu bw’abaana baabwe, okwogera nabo, okubawuliriza n’okubalungamya, okubeewaza emize egiyinza okutawaanya n’okutaataaganya enkula yabwe ey’obwongo.
Asabye abazadde obutasuulirira buvunaanyizibwa bwabwe mu nsonga enkulu ey’okukuza abaana n’omusingi gw’obuntubulamu.#