Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga mwennyamivu olw’abantu abatandise okusereba mu mpisa z’obuntubulamu, sso nga zeziwadde Buganda ettuttumu emirembe gyonna nga yegombebwa abalala abava mu bitundu ebyenjawulo.
Nnaalinnya Lubuga agambye nti ekirabo ky’obuntubulamu mu Baganda kiri mu musaayi, naye olw’okuba waliwo abantu bangi abavudde mu bitundu by’ensi ebyenjawulo nebaseenga mu Buganda nga balina empisa n’enneeyisa ezaabwe, Abaganda batandise okuddirira mu mpisa zaabwe ezibaawula ku balala.
Nnaalinnya ajjukizza Abaganda abakulu n’abato okubeera abegendereza baleme kuva ku mulamwa ogw’okukuuma empisa ezo ezifuula Buganda eyenjawulo.
Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, abadde aggalawo olusirika lw’abaweereza mu kitongole ky’abagenyi mu Bwakabaka olumaze ennaku 2 ku kitebe ky’ebyobulambuzi e Mmengo.
Yebazizza abaweereza bano olw’okwewaayo nebatuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa era n’abasaba basse ebibasomeseddwa mu nkola, naddala eky’okussa essira ku mpisa ey’obuntu bulamu.
Minister w’Olukiiko, Kabineeti n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro era avunaanyizibwa ku bagenyi, Owek Noah Kiyimba, ategeezezza nti baategese omusomo guno n’ekigendererwa eky’okukuuma kitiibwa kya Namulondo, nga baalambika abaweereza abateekateeka emikolo gy’Obwakabaka n’okubudaabuda abagenyi b’Obwakabaka abava mu bitundu by’ensi ebyenjawulo.
Mu kusooka abaweereza bafunye omusomo ku kwogera mu bantu, enneeyisa, n’ensengeka y’ebigambo ebitambulira ku mulamwa ogw’omukolo oguba gugenda mu maaso.
Omukungu David Ntege, akulira ekitongole ky’abagenyi mu Bwakabaka alambise abaweereza mu kitongole kya pulotoko ku nnyambala, enneeyisa, enjogera, obuyonjo, n’enkolagama n’abantu be baweereza.#