Radio ya Ssaabasajja Kabaka CBS etandise okusuunsula abameganyi abagenda okuvuganya mu mpaka zÓlulimi Oluganda nÓbuwangwa ezÉntanda ya Buganda 2025
Entanda y’ababeera e Bulaaya y’egenda okusooka etandika nga 15 September,2025.
Abantu 130 bebakoze ebigezo byÓkusunsulamu abaneetaba mu Ntanda ya Buganda, nga abamegganyi 60 bokka bebagenda okuyitawo okuvuganya.
Abanaayitawo okuvuganya empaka z’akamalirizo kwekugenda okuva omuzira mu Bazira qa 2025, anaalangirirwa mu Nkuuka ya CBS mu Lubiri e Mengo, nga 31 December, .l2025.
Omutesiteesi wÉntanda ya Buganda Lubega Ssebende agambye nti obujjumbize bwÁbamegganyi omwaka guno bweyongeddeko obungi.
Lubega Ssebende agambye nti nti Abakyala obutafaananako myaaka giyise bajjumbidde , ekintu ekiwa essuubi mu by’enkulaakulana.
Bisakiddwa: Kato Denis