Omwami wa Kabaka atwala essaza Butambala, Katambala Al Hajji Magala Sulaiman, mu butongole ayanjulidde Bannabutambala ttiimu kabiriiti egenda okuvuganya mu mpaka za Masaza ez’omwaka guno 2025.
Mu ngeri yeemu Hassan Mubiru, ayanjuddwa ng’omutendesi wa ttiimu omuggya.
Mu kusooka Butambala yali yalonda Richard Malinga, wabula yasuulawo omulimu oluvanyuma olw’ebyo ebyakanyizibwako obutatuukirizibwa.
Hassan Mubiru ku mulimu gw’okutendeka Butambala akomyewo mulundi gwakubiri, nga yasooka okutendeka Butambala mu 2006 nagituusa ku semifinal ne mu 2007 nagituusa ku quaterfinal. Omukolo gw’okwanjula ttiimu eno gubadde ku kisaawe kya Kibibi SS Butambala gy’egenda okukyaliza emipiira gyayo.
Ssentebe wa ttiimu eno, Hajji Adam Ggolooba Ntale, akinoganyiza nti Butambala yetaaga ensimbi eziwerako kyokka nti zitekeddwa kuva mu Bannabutambala naabasaba obutassa mukono.
Eyaliko omubaka omukyala owa Butambala, Hon Lydia Mirembe Kalule, awaddeyo ensimbi obukadde 2 nga etandikwa eri ttiimu eno, nasaba nabalala okuwaayo eri ttiimu eno.
Butambala era yazanyemu omupiira ogw’omukwano ne Gomba, ttiimu zombi nezigwa maliri 0-0.
Butambala mu mpaka za masaza ez’omwaka guno 2025 eri mu kibinja Muganzirwazza, omuli ne Kyaggwe, Ssingo, Mawogola, Kabula ne Kkooki.
Empaka za Masaza zigenda kutandika nga 21 June,2025 mu kisaawe kya Kitovu Arena, era Buddu y’egenda okuggulawo ng’ettunka ne Gomba.