Buluuli erangiridde Noah Mugerwa ng’omutendesi omuggya – akomyewo mulundi gwakubiri – CBS FM

Date:

 

Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Buluuli lukakasiza Noah Mugerwa nga omutendesi omugya ow’essaza lino, okudda mu bigere bya Mukasa Nasibu eyagenze e Gomba.

 

Noah Mugerwa mu kiseera kino era ye mutendesi wa club eya Bunyaruguru United okuva mu Lubirizi district, era nga yakamala n’okugisumusa okugenda mu kibinja kya Big League.

 

Noah Mugerwa ku Ssaza Buluuli azeeyo omulundi ogw’okubiri, wabula era atendeseko amasaza amalala okuli Butambala, Buddu, Busiro, Ssingo, Kyadondo ne Kabula.

 

Buluuli yakakunganya obubonero 4 mu mipiira 3 mu mpaka za Masaza ez’omwaka guno.

 

Egenda kuzaako okukyalira Gomba mu kisaawe e Kabulasoke ku Sunday  nga 20 July.

 

Buluuli yakawangula ekikopo kya Masaza omulundi gumu mu 2011 lwe bakuba Bulemeezi goolo 2-1 mu kisaawe e Nakivubo.

 

Buluuli mu mpaka z’omwaka guno 2025 eri mu kibinja Bulange ne Buddu, Gomba, Busiro, Ssese ne Busujju.

 

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe

Share post:

Popular

Also Read

Businessman Umar Ssuna uses profits to help needy children

Umar Ssuna, known to many as “Alpha Motors Ug,”...

Katikkiro Mayiga alambise abakulembeze mu Buganda okulwanirira Obwakabaka mu Uganda – CBS FM

  Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakulembeze ku...

Levixone Shares Harrowing New Year’s Eve Ordeal That Nearly Claimed His Life

Gospel artist Levixone has narrated a tragic experience that...

NEED president Joseph Kabuleeta Threatens Legal Action Against FDC Over Slogan – CBS FM

The National Economic Empowerment Dialogue (NEED) party has accused...
Verified by MonsterInsights