Katikkiro Mayiga alambise abakulembeze mu Buganda okulwanirira Obwakabaka mu Uganda – CBS FM

Date:

 

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu government eya wakati, abakiikirira ebitundu bya  Buganda  okusoosowaza ensonga zÓbwakabaka.

Katikkiro abadde asisinkanye minister wa Micro finance Haji Kyeyune Haruna Kasolo,akiise embuga okwanjula enteekaterka ze ez’okuvuganya ku  kifo kyÓmumyuuka wa Ssentebe wa NRM mu Buganda.

Katikkiro ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka talina kibiina kya byabufuzi kyasibira Bweru.

Katikkiro  asabye abakulembeze mu bibiina byÓbufuzi abesimbyewo ku bifo ebyenjawulo, okuvuganga nga tebayiwa Musaayi, okwewala entalo mu Kulonda, kuba kino kigenda kuviirako eddembe lyÓbuntu okulinnyirirwa, nÓbulamu bwÁbantu okukosebwa.

Awadde abavubuka amagezi okuva mu by’obufuzi ebyekinyumu, wabula bettanire ebifo ebyenkizo ebisalawo, okuviira ddala ku byalo  balwaanire obulungi omugabo gwabwe.

 

Minister Kyeyune Haruna Kasolo yebazizza Abantu mu Buganda olwÓbuwagizi eri NRM, nasuubiza okukulembeza ensonga z’Obwakabaka ssinga ayitamu ku kifo ekyo.

Ssentebe wa district ye Luweero eyawummula Alhajji Abdul Nadduli, agambye nti alina essuubi mu Minister Kasolo, kuba ensonga zÓbwakabaka ne Uganda eyaawamu azimanyi bulungi.#

 

Bisakiddwa: Kato Denis

Share post:

Popular

Also Read

Parliament Passes Bill to Professionalize Teaching Sector

KAMPALA, Uganda — Parliament passed the National Teachers Bill,...

Deputy Speaker Tayebwa Reassures Diplomats On Sovereignty Bill Consultations

KAMPALA, Uganda — Deputy Speaker of Parliament Thomas Tayebwa...

State House Unit Launches Global Webinar Series To Boost Diaspora Engagement

KAMPALA, Uganda — Remittance inflows from Uganda’s diaspora reached...