Ekitongole ky’ebyobulambuzi ki Buganda Heritage and tourism board nga kikolagana ne kinaakyo ekya Uncovered travel initiative Africa balambudde ebifo by’obulambuzi eby’enjawulo mu Kampala, n’ekigendererwa ekyokwongera okwagazisa banna Uganda okulambula ebifo ebyo.
Okulambula kuno kwatuumiddwa Kampala tourism walk, wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘Kampala reimagined’ era kwetabiddwamu bannakibuga abawerera ddala.
Basimbudde ku National Theater mu Kampala nebadda ku kitebe kya KCCA , olwo nebagenda ku kijjukizo ky’amenunula ekyeggwanga , ate oluvannyuma nebagenda ku bifo ebirala.
Balambudde Amasiro g’eKasubi, e Kkanisa ye Namirembe, Bulange nebifo ebirala, bamalidde mu Lubiri Lwa Kabaka e Mengo nebagabulwa emmere y’Omuganda okubadde n’empombo.
Akulira ba kitunzi ba Buganda Heritage and tourism board Brian Ssennoga agambye nti ekikolwa kino kigenda kwongera nnyo okutumbula ebyobulambuzi, kubanga balina essuubi nti bonna ebenyigidde mu kutambula kuno Bagenda kubunyisa enjiri y’ebyobulambuzi amakula ebiri mu nyaffe Uganda ne Buganda .
Agambye nti Obwakabaka bwa Buganda yentabiro yebyobulambuzi mu Uganda, era nga balina okubyagazisa abantu nga babalaga gyebiri.
Omwogezi wa KCCA Daniel Nuwabine agambye nti nga KCCA nabo boongedde amaanyi mu kutumbula ebyobulambuzi nga bayita mu nteekateeka ez’enjawulo.
Oweby’omutindo okuva mu kitongole ki Uganda Tourism board Samora Mashel Ssemakula agambye nti abalambuzi bwebanaategeera ebyobulambuzi enkuyanja ebiri mu Kibuga Kampala eggwanga lyakufuna obutitimbe n’obutitimbe