Kkooki efunye obuwanguzi obusoose mu mpaka za Masaza ga Buganda 2025 – CBS FM

Date:

 

Ttiimu y’essaza Gomba egudde maliri ne Buddu goolo 1-1 mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere,  mu mupiira ogubaddeko n’obugombe mu kisaawe e Kabulasoke. 

 

Buddu yesoose okuteeba nga eyita mu Dasan Mubiru mu kitindu ekisooka,   olwo Gomba eteebye nga eyita mu Robert Ssewanyana mu peneti mu kitundu eky’okubiri. 

 

Emipiira emirala,  Buluuli ekubye Ssese goolo 2-1 mu kisaawe e Migyera ate nga Busujju erumbye Busiro omwayo e Ssentema n’egikubirayo goolo 1-0. 

 

Buweekula ekubye Mawokota goolo 1-0 e Mubende, ate Bugerere ekubye Kyadondo goolo 3-2 e Mukono. 

 

Kkooki nayo ekubye Ssingo goolo 2-1 e Kyotera, era nga bwe buwanguzi bwayo obusookedde ddala mu mpaka z’amasaza ez’omwaka guno 2025.

 Kabula nayo erumbye Mawogola omwayo n’egikubirayo goolo 1-0. 

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe

Share post:

Popular

Also Read

Prima Kardarshi Explains Why She Lives Separately From Her Boyfriend and Why She Avoids Weddings

Socialite and beautician Prima Kardarshi has given her stance...

Da Agent Shares Emotional Story of Growing Up Poor in Bwaise, Surviving on Jackfruit Seeds

Lugaflow rapper Da Agent, real name Ivan Wabwire, has...

MamiDeb Considers Having Children Through Surrogacy and Adoption Following Cosmetic Surgery

Businesswoman and reality TV star, MamiDeb, real name Deborah...

How GROW Project business clinics will empower female entrepreneurs – Xclusive News

​KAMPALA, UGANDA:– In a significant move to bolster the...