Sipiika wa parliament ya Uganda Anita Annet Among era nga ye mubaka omukyala owe Bukedea alangiriddwa ku kifo ky’omukyala amyuka ssentebe wa NRM, ku lukiiko lwa Central Executive Committee ( CEC).
Among awangudde Rebbecca Kadaga abadde mu kifo kino, era nga yamuwangula ne mu kalulu ka sipiika wa parliament eye 11.
Okulonda kubadde mu kisaawe e Kololo, ewatudde ttabamiruka wa NRM owa 2025.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM alangiridde Among n’obululu 11,680 nga bukola ebitundu 92% eby’abakubye akalulu, ate Kadaga afunye obululu 902 bye bitundu 7.2%.
Abalonzi babadde 12,582.#