Abazigu b’emmundu bayingiridde edduuka lya Hardware e Jinja nebakuba abakozi amasasi omu bamusse

Date:

Akasattiro n’okubuna emiwabo bibadde mu kibuga kye Buwenge mu district ye Jinja, abazigu ab’emmundu bwebayingidde mu dduuka lya Hardware erya Isabirye God nebakuba ababaddemu amasasi, gasse Bumaali Ben negalumya nabalala babiri.

Bino bibaddewo ku saawa nga bbiri ezekiro kya nga 04 April,2025 abakola mu dduka bwebabadde banaatera okuggalawo.

Abeeabiddeko nagaabwe bagamba nti abazigu babadde batambulira mu mmotoka yobuyonjo etabaddeko namba plate, era olumaze ogwaabwe nebabulawo.

Banenyezza police ye Buwenge olwokubeera ennafu, nebagamba nti singa etuukiddewo mu bwangu  yandikutte abazigu bano abongedde okutigomya Jinja.

Sentebe wa District eno Moses Batwaala yoomu kwabo abaatukiddewo, era navumilira ebikolwa by’obutemu ebyeyongedde mu Jinja.

Police omulambo egututte mu ggwanika lye Ddwaliro e Jinja nga bwegenda mumaaso nokuyigga abatemu.

Share post:

Popular

Also Read

Police Roll Out Security and Traffic Plan for MP Nominations in Kampala

Kampala Metropolitan Police have announced a series of security...

Museveni Pledges to Recruit 1,400 Health Inspectors to Curb Drug Theft

The National Resistance Movement (NRM) Presidential Candidate, General Yoweri...

Jose Chameleone: I Love Bobi Wine as a Brother, But I Belong to NRM

Musician Jose Chameleone has confessed that he doesn’t wish...

Alien Skin Battles for Fangone Forest Name as Businessman Claims Trademark Rights

Musician Alien Skin found himself in a legal battle...