Abatuuze mu kabuga ake Kanoni mu district ye Gomba bali mukutya olwababbi abeeyongedde obungi mu kitundu ekyo, nga nabakasembayo balumbye Omukozi wa mobile money ne Agent Banking nebamutemaatema.
Omusuubuzi gwebalumbye ye Nassali Florence Mukyaala w’omumyuuka wa town clerk owa town council ye Kanoni mu Gomba Ssande Baduuzi.
Nassali Florence, ababbi baamulumbye kiro awo ku ssaawa nga 2 nga 22 July,2025, nga yakannyuka ku mulimu nebeesogga ekisenge mweyabadde nebamulagira abawe ssente zonna wamu n’essimu zakozesa, nga kwotadde n’okumutemaatrma.
Omu ku bawala ba Nassali Florence owemyaaka 14 eyalabye bino byonna nga bigenda mu maaso, ategeezezza Cbs nti ababbi babadde nga 6 nti bwebatuuse ewaka nebabuuza abaana Nnyaabwe weyabadde, olwo abaana kwekulimba ababbi nti Nnyaabwe teyabaddewo.
Ababbi baalagidde abaana bonna bafukamire wansi nekyaddiridde kwesogga kisenge Nnyaabwe mweyabadde nebamutulugunya.
Ababbi baadduse nessente zonna wamu n’essimu olwo abenganda kwekuddusa Omusuubuzi Oyo mu ddwaaliro lye Mengo mu Kampala.
Abatuuze mu kabuga ake Kanoni mu Gomba banenyezza abasirikale ku police ye Kanoni olw’okwesuulirayo ogwa nnaggamba, nti olwokuba ababbi buli kiseera banyagulula ekitundu ekyo kyokka nga police eri wakati mu town.#