Abatuuze ku kyalo Sseeta Namanoga mu gombolola ye Namuganga Mukono baziinduukirizza abantu basatu ababadde bateeberezebwa okuba ababbi babasse, nga bino bibaddewo mu kiro ekikeesezza olwa leero mga 29 August,2025.
Abasatu bano nga tebannaba kwatuukirizibwa mannya, kigambibwa nti babadde bagenze kubba maduuka ku byalo ebyenjawulo, nga babadde batambulira mu Taxi namba UBD 326 X.
Omu ku batuuze ababaddewo nga bino bigwaawo ataagadde kwatuukirizibwa mannya, ategeezezza CBS nti abattiddwa basoose kulondoolwa mu matumbi gÓbudde ku ssaawa nga Munaana ogwekiro, kyokka oluzudde nti babaguddemu nebagezaako okudduka kwekubataayiza nebabakwata.
Omu ku bantu abasimattuse okuttibwa nga naye tannamanyika manya, yagenda okuyambako police mu kunoonyereza ku nsonga eno.
Bisakiddwa: Kato Denis