Abantu 6 bebagambibwa okutwalibwa amataba agaazinze district ye Bulambuli – emirambo 2 gyegyakazuulwa – CBS FM

Date:

Ekitongole ekiduukirira abali mu bwetaavu ekya Uganda Red Cross Society, kigumbye mu district ye Sironko okwongera okukwasizaako abantu abakoseddwa amataba, n’okunoonya abantu abakyabuze abagambibwa okuba nga baatwaliddwa amataba.

Mu buvanjuba bwa Uganda enkuba etonnya eviiriddeko amataba okwanjaala mu nnimiro, ne nnyumba z’abantu zaagudde.

Mu district ye Bulambuli omugga Sisiyi gwabooze negukosa ekyalo kya Lusha mu muluka gwe Biritanyi.

Abantu 6 nga bonna baami batwaliddwa amataba era nga emirambo gyegyakazuulwa.

Abagenzi kuliko Walimbwa Robert mutabani wa Nambozo Janepher omutuuze ku kyalo Nashuwa, mu muluka gwe Gombe mu ggombolola ye Lusha mu district ye Bulambuli.

Omulala ye Musamali Paul, mutabani wa Nakoko John omutuuze ku kyalo Chuma, mu muluka gwe Bumwambu mu ggombolola ye Lusha era mu district ye Bulambuli.

Irene Nakasiita, ayogerera ekitongole kya Uganda Red Cross, agamba nti waliwo ne ppikipiki ezaatwaliddwa amataba, ebirime byayononeddwa nebirala.

Agambye nti Red-cross ekubye enkambi mu bitundu bye Sironko, okwongera okukwasizaako abantu abakoseddwa amataba mu kitundu ky’obuvanjuba bwa Uganda.

Nakasiita era alabudde abagoba b’ebidduka okwewala okuyita mu mazzi agaanjadde  kuba kyabulabe eri obulamu bwabwe.#

Bisakiddwa: Ddungu Davis

 

Share post:

Popular

Also Read

I’ve Learnt Lessons, Says Nabakooba As She Returns For Mityana Woman Seat

Minister for Lands, Housing and Urban Development, Judith Nabakooba,...

Bahati, 15 Other Defiant NRM Losers Nominated as Independents in Kigezi

David Bahati, Minister of state for trade, industry and...

AfCFTA: Minister Mbadi Challenges Implementation Committee to Deliver Tangible Results – UG Standard

KAMPALA– The Minister of Trade, Industry and Cooperatives, Gen....

Lil Pazo Lunabe Files Cyberstalking Case against Omukunja Atasera

Singer Lil Pazo Lunabe expressed his disappointment and frustration...