Olukiiko lwa IPOD summit lwe Lukiiko olutaba ba President bebibiina byobufuzi ebiri mu IPOD.
Olukiiko luno lusuubirwa okutuuula mu wiiki esooka eyomwezi gwa September,2025 mu kisaawe e Kololo.
Ensisinkano eyo eya IPoD summit yakwetabwamu president wa DP, PResident wa Jeema, President wa UPC , President wa PPP, ssentebbe wa NRM, ne President wa FDC.
Ensisinkano yaba Ssabawandiisi bebibiina ebyo eyatudde mu bitundu bye Entebbe ,yasazeewo nti ensonga okuli ekwata ku tteeka lya Public Order management Act erirungamya enkuηaana , Police mweyesigama okulemesa ab’oludda oluvuganya government esindikibwe eri olukiiko lwa summit eyogerebweko era ekomekerezebwe.
Minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi Nobert Mao era nga ye president wa DP aze ekyogera lunye nti etteeka eryo police eritaputa kifuula nnenge ,teriwangako police buyinza okukkiriza oba okugaana enkuηaaana, nti etteeka liragira police kukola gwa kuluηamya nkungaana.
Ensonga endala abakulu gyebasindiise mu Lukiiko lwa ba president b’ebibiina bya IPOD, yekwaata ku ngabanya y’ensimbi ekyenkanyi mu mwaka gwekisanja ogusembayo, nga etteeka erifuga ebibiina byobufuzi erya Political Parties and Organisations Act 2005 bweriragira
Okuva government lweyatandiika okuwa ebibiina byobufuzi ensimbi, ennyingo eyogera ku ngabanya y’ensimbi ezo ekyenkanyi mu mwaka ogusembayo ogwekisanja ebadde teteekebwangako mu nkola.
Kati ba Ssabawandiisi b’ebibiina bagala esalibwewo abakulira ebibiina byonna ebiri mu IPOD biweebwe ensimbi kyenkanyi, nga byolekera akalulu akabindabinda aka 2026.
Ba Ssabawandiisi b’ebibiina byobufuzi ebyo eyatudde ensonda zibuulidde CBS nti bakaanya ku kuluηamya okwakolebwa minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi Nobert Mao, okugenda okulambika ensimbi government zeewa ebibiina byobufuzi.ηη
Etteeka lino oluvanyuma lwennongosereza ezaaakolebwamu, ebibiina byokka ebirina endagaano ne IPOD byebigenda okuweebwa ensimbi ezo.
Ensonda ezaali mu nsisinkano eyo zitemeza ku radio Eno nti minister Moa yabategeeza nti okulambika kuno kugenda kukubwa mu kyaapa obutasukka mwezi gwa August,2025.
Okugaba ensimbi ezikyali mu kakiiko k’ηebyokulonda eziri eyo mu buwumbi 11 kwakulolebwa nga okulambika okwo kukubiddwa mu kyaapa kyeggwanga.#