Obukulembeze bw’ennono obwa Acholi bweralikirivu olw’Abalaalo abakyalemedde mu bitundu bye Acholi, wadde president Museveni yawa ekiragiro nti abalaalo baamuke ebitundu ebyo.
Bemulugunya olwobwavu obufumbekedde mu kitundu kyabwe ekye Acholi, ng’ebibalo ebivanyuma biraba nti Acholi kyekitundu ekisingamu obwavu
Abakulembeze ba Acholi obunyikaavu bwabwe babubuulidde abakulembeze b’ekibiina ki Democratic Front abakulembeddwamu omukulembeze waakyo era kamnissona wa parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba, abakyaddeko mu lubiri lwa Paramount chief David Onen Ochana Owokubiri
Mu nsinsinkano eno, omumyuuka asooka owa Ssabaminister mu bukulembeze obw’ennono obwa Acholi, Martin Okumu yebuuzizza ekirubiirirwa ky’abalaalo okulekawo ebitundu byonna nebasengukira mu Acholi.
Agambye nti wadde omukulembeze w’eggwanga yalagira abalaalo baamuke Acholi nti bangi bakyalemeddeyo, abamu baagula ettaka, abamu bawasaayo abakazi, songa n’abasajja abachooli bawasa abakazi abalaalo.
Kinnajjukirwa nti omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni yayisa ekiragiro abalaaro okuva mu Acholi, wabula bangi baalemererayo.
Mwami Museveni yabuulira eggwanga nti waliwo abajaasi mu magye g’eggwanga abalemesa enteekateeka yabalaalo okwamuka obukiiko kkono bw’eggwanga.
Omukulembeze wekibiina ki Democratic Front Mathias Mpuuga Nsamba mukwogera kwe ku nsonga eno, agambye nti eggwamga lifumbekedde mu bizibu njolo, wabula emu ku ngeri yokka bannansi gyebasobola okubigonjoola kwekutuula ku meeeza emu , boogere ku buzibu buno omuli n’ensonga z’abalaalo.
Obukulembeze bwa Acholi cultural institution,butenderezza Mathias Mpuuga olw’okuzannya ebyobufuzi ebyokuwaηana ekitiibwa eby’rkisajja kikulu.
Bamugambye nti enzijji nzigule eri omuntu yenna ayagala okukolagana n’obukulembeze obwo okuleetawo enkyuukakyuuka mu mbeera z’abantu ba Acholi okuva mu bwavu.
Bannakibiina ki Democratic Front basiibye mu Kibuga Gulu, akakiiko k’ekibiina kino ak’ebyokulonda mwekasunsulidde bannakibiina kino abagala okuvuganya ku bifo ebyenjawulo mu kalulu ka 2026.
Muno mubaddemu eyaliko omubaka wa Aruu North mu parliament eye 10, Lucy Aciro Otim asaze eddiiro mu bitongole neyegatta ku Democratic Front
Abantu 8 abagala ebifo by’obubaka bwa parliament bebasunsuddwa, saako ba ssentebbe ba districts, ab’amagombolola ba kansala n’abalala.#