Abavunaanyizibwa ku kwaniriza abagenyi mu Bwakabaka bwa Buganda baweereddwa amagezi babeere basaale mu kukuuma ekitiibwa kyÓbwakabaka, nga bakola emirimu gyabwe mu ngeri ey’ekikugu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abadde abasisinkanye ku kitebe kyÉkitongole kyÉbyobulambuzi ku Butikkiro,gyebabaanguliddwa ku ngeri y’okulinnyisa omutindo gw’omulimu gwabwe.
Abalabudde nti enneeyisa yÁbatuuza etawa bebatuuza kitiibwa emalamu amaanyi, naasaba abatuuza mu Bwakabaka okubeera ekyokulabirako.
Katikkiro asabye abatuuza okukuuma ebiseera nÓkubeera abayiiya ennyo mu byebakola, era naabasaba okukozesa tekinologiya okufuna obukugu obupya , olwo byebakola bibe byamutindo.
Abakuutidde okumanya ebyafaayo n’ebikwata ku bagenyi ababeera bakyadde, ebitiibwa bye, obuweereza bwabwe, n’amannya ge amatuufu, olwo nno balyoke bafuuke abamanyi era abasobola okusalawo eby’ensonga.
Wabula abasabye okukuuma obuyonjo okusobola okuggyayo ekifaananyi ky’obwakabaka ekituufu.
Minister wÓlukiiko, Cabinet nénsonga zÉnkizo mu yafeesi ya Katikkiro Owek Noah Kiyimba, yebazizza abatuuza olwÓkufuba okumanya enzirukanya yÉmirimu nÓkutereeza ekifaananyi kyabwe mu bantu bÓmutanda.
Bisakiddwa: Kato Denis