Abaana 3 bagiiridde mu nabbambula w’omuliro akutte ennyumba ya bazadde babwe ku kyalo Mpala mu muluka ogwe Kitala mu Town Council eye Katabi mu district ye Wakiso.
Abaana abafudde kubaddeko ow’emyaka 14, 7ne 3 nga baana ba Renon Kavuma muzikulu w’omutaka Kintu.
Kiteeberezebwa okuba nti omuliro ogubasse guvudde ku masanyalaze.
Abamu ku baddukirize abakulembeddwa muzei Hebert Mubiru bateebereza nti gwandiba nga gwatandise ku ssaawa nga ttaano ez’ekiro, era nga abazadde bimbi tebabaddewo.
Maama w’abaana agenze okukomawo asaanye ennyumba efuuse muyonga nga n’abaana basirisse
Emilambo gy’abaana Police ye Ntebe egyitutte mu ddwaliro ekkulu e Mulago gyekebejebwe.
Ogwoto gukumiddwa ku kiggya ky’omugenzi Kintu e Mpala webabadde bakaziika Jjaja w’abagenzi, mukadde Nabulya Edisa Kintu abadde amanyiddwa nga senga Nakidde.
Bisakiddwa: Kakooza George William