Abaali abakozi b’ekitongole ky’enguudo ki Uganda National Roads Authority UNRA ekyagibwawo abawerera ddala 1030, bebaakaweebwa emirimu mu ministry y’ebyentambula n’enguudo era nebafuulibwa abakozi ba government abajjuvu.
Ekitongole ki UNRA government yakiggyawo obuvunaanyizibwa bwekyaali kikola nebutwalibwa mu ministry y’ebyentambula n’enguudo.
Govermment yali egenderera ekyokukendeeza ku nsimbi zeyali esaasaanya ku kitongole ekyo nebitonge ebirala ebyali bikolwa emirimu egifanagaana.
Ekitongole ki Uganda Road fund nakyo kyagibwawo, government era yasuuubiza nti abakozi abaali baweereza mu bitongole ebyo baali bakutwalibwa mu ministry y’ebyentambula n’enguudo
Amyuuka omwogezi wa ministry yebyentambula Allan Ssempeebwa agambye nti abaawereeddwa emirimu mu kiseera kino bali mu kubangulwa ku nkola y’emirimu neneeyisa yabakozi ba government: