Abaakaggyayo empapula okuvuganya ku bwa president bwa Uganda mu 2026 baweze 121 – President Museveni amaze okuggyayo – CBS FM

Date:

Ebibiina by’ebyobufuzi 5 byebyakaggyayo empapula okusimbawo abantu abanaavuganya ku bwa president mu kalulu akajja aka 2026.

Omumyuka wa ssentebe wa NRM  Alhajji Moses Kigongo ne Ssaabawandiisi w’ekibiina Richard Todwong bebakiikiridde President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, era nga ye ssentebe wa MRM.

Forum for Democratic Change (FDC) nayo eggyeyo empapula okusimbawo Nathan Nandala Mafaabi.

Ebibiina ebirala kuliko Conservative Party, National Economic Empowerment Dialogue (NEED) ereese Joseph Kabuleeta ne Uganda Economic Party kati ekyeyita Common Man’s Party ereese Mubarak Munyagwa.

Abantu abalala abasoba mu 90 baggyeyo empapula bagala kuvuganya ku lwabwe nga tebeesimbyeyo mu kibiina kyonna.

Abakyala bawera 15 bebaakaggyayo empapula okuvuganya ku bwa president bwa Uganda.

Omwogezi wa Electoral Commission Julius Muchunguzi, agambye nti abaggyeyo empapula kibakakatako okuzizzaayo eri akakiiko mu bbanga lya wiiki bbiri, nga kuliko emikono gy’ababaseemba wakiri 100 okuva mu buli district.

Buli azzaayo empapula alina okuba ng’asasudde obukadde bwa shs 20.

Nsalesale w’okuzzaayo empapula wa nga 24 September,2026.#

Share post:

Popular

Also Read

Uganda pivots to Eastern Europe to boost wildlife and cultural tourism – UG Standard

MOSCOW — A delegation of Ugandan tour operators has...

Rhythms and culture to collide at Bridges & Beats Francophonie Concert – Xclusive News

Music lovers are in for a vibrant cultural experience...

MTN Uganda mobile money transactions reach Shs 195.5 trillion in 2025

KAMPALA, Uganda — MTN Uganda customers processed 195.5 trillion...