Mbakooye Okunsabiriza – Gen Saleh Agobye Abayimbi E Gulu

Date:

Omuwabuzi wa President ku nsonga z’ekinnamaggye era mugandawe, nga yakulira Operation wealth Creation General Salim Saleh Akandwanaho agobye  abayimbi nebannabitone obutaddamu kugenda Gulu okumulaba naddala mukiseera kino ekyennaku enkulu.

General mu bubaka bwawandiikidde omuwabuzi wa President ku nsonga z’ebiyiiye n’ebitone, Edriisa Musuuza, agambye nti akooye abayimbi abeeyiwa e Gulu munnaku zino enkulu kubanga bataataaganya emirimu gye.

Captain Wilson Kato Agaba omwogezi wa Operation wealth Creation agambye nti General Saleh yawabudde abayimbi nti bwebaba balina ensonga zebamwetaaza bayite mu mukulembeze wabwe atwala ekibiina ki Uganda musicians Association Edriisa Musuuza nti  yaggya okuzituusa  gyali

Wabula  abayimbi bano balina ebiwayi ebyenjawulo n’obukulembeze obwenjawulo, era nga waliwo abatakkiririza mu kibiina ekikulirwa Edriisa Musuuza.

Share post:

Popular

Also Read

Gutta Arnolds Kickstarts career with Hannah

New Kid on the block Gutta Arnolds showcases his...

DJ Harold Features Vinka, Banga Boi And Nigeria’s Oladapo On His ‘Drink Mo’ Banger

Celebrated spin master Dj Harold, and the producer behind...

Da Agent Blasts Gravity For “Vulg@r” Song Title

Uganda's Lugaflow artist Da Agent has expressed his dissatisfaction...

I Am Ready To Unseat Erias Lukwago – Alien Skin

Fangone forest CEO Patrick Mulwana, also known as Alien...