1929 – 2025! – CBS FM

Date:

Hon.Canon Rhoda Nakibuuka Nsibirwa Kalema afiiridde mu Kibuga  Nairobi ekya Kenya mu kiro ekikeesezza olwaleero nga 03 August,2025,  gyeyabadde atwaliddwa okwongera okujjanjabwa.

Rhoda Kalema yazaalibwa nga 19 May,1929, afudde nga 03 August,2025 gy’emyaka 96 gyafiiriddeko.

Omugenzi Hon Rhoda Nakibuuka Nsibirwa Kalema yoomu ku baana beyali Katikkiro wa Buganda omugenzi Owek Martin Luther Nsibirwa, era ng’abadde Ssenga w’omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda era Omuwanika Owek. Robert Waggwa Nsibirwa.

Rhoda  Kalema abadde mu nnabyabufuzi omuggundiivu mu Uganda era nga ye mubaka omukyala eyasooka, abadde yebuuzibwako ensonga, yaliko omubaka wa parliament owa Kiboga, yaliko minister w’ebyobusuubuzi,omulwanirizi w’edddembe, era nga n’olutalo olwanunula Uganda okuva mu government ezaaliwo yalwenyigiramu obutereevu

Yoomu ku bannayuganda abaatandiika ekibiina ki Uganda national patriotic Movement ekyeyubula nekifuuka NRM.

Yasomera Gayaza Junior school, Kings’ College Budo.

Abakulembeze abenjawulo balina byebamwogeddeko
Abantu abenjawulo baweerezza obubaka obusaasira n’obutendereza omugenzi Hon.Canon Rhoda Nakibuuka Nsibirwa Kalema, olw’emirimu amatendo gyeyakolera eggwanga lino naddala okulwalirira enfuga etambulira ku mateeka, okuteekawo omukululo ogwaggulirawo abakyala mu Uganda okuyingira ebyobufuzi n’obukulembeze.

Katkkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Muky. Rhoda Kalema, muwala wa Katikkiro Martin Luther Nsibirwa,  Abadde awa ekifaananyi ekituufu ku mbeera z’omukyala ow’ettutumu era munnabyabufuzi.

“Rhoda Kalema Tunaamujjukiranga olw’okukuza abaana n’okukuuma amaka okuva bba, William Kalema, lwe yatemulwa mu biseera bya Idi Amin. Ate abadde ttaala y’enju y’Owek. Martin Luther Nsibirwa.”- Katikkiro Charles Peter Mayiga

Sipiika wa parliament Anita Annet Among kulwa parliament ya Uganda agambye nti omugenzi yaggulirawo abakyaala oluggi, era abakyala bangi beyakwayako abali mu bukulembeze n’ebyobufuzi naddala mu parliament olw’okulafuubana n’obuvumu bwomugenzi Rhoda Kalema.

Sipiika Among agambye nti omugenzi yateeka ettoffaali ddene nnyo ku ssiga lya parliament nga omukululo gwe gulabwako.

Amyuuka sipiika Thomas Tayebwa agambye nti omugenzi  Rhodah Kalema erinnya eryaali lyamukazibwaako erya “Maama wa parliament” teryava mu bbanga, era nga yoomu ku bakyala abasookera ddala okukiika mu parliament ya Uganda, era emirimu gyeyakola mu kiseera ekyo nakati gyeyogerera.

Thomas Tayebwa agambye nti omugenzi yalwanirira omwenkanonkana gw’abalyaala era nasitula Eddoboozi ly’abakyaala  bangi okwegatta ku byobufuzi nobukulembeze.

 Omumyuuka asooka owa Ssabaminister weggwanga era minister w’ensonga za East Africa Rebecca Alitwaala Kadaga agambye nti omugenzi Rhoda Kalema asitudde era nakiikirira ekitonde ekikyaala era emirimu gyeyakola gyagulirawo abakyala oluggi.

Winnie Kiiza eyakulirako oludda oluvuganya government mu parliament yebazizza omugenzi olwabyakoleddde eggwanga naagamba nti omulimu gweyatandika gwakusigala gutambula kubanga beyatendeka bangi bakyaliwo.

Share post:

Popular

Also Read

Kabale District NRM Cadres Honor Outgoing RDC Godfrey Nyakahuma for Exemplary Service – Xclusive UG.

By Innocent Ruhangariyo Kabale-In a heartfelt ceremony, the National...

EC reschedules Non-Unionized Workers’ elections

As Uganda gears up for the 2026 general elections,...

SAD-Body of Unidentified Woman Found Tied in Sack in River Ntungwa, Kanungu District – Xclusive UG.

Kanung-Police in Kanungu District have launched a full-scale investigation...

1905 – 2025 – CBS FM

Omulabirizi we Namirembe kitaffe mukatonda Rt Rev Moses Banja...
Verified by MonsterInsights