Kyonna kyosobodde tukyaniriza, okudduukirira omulimu gw’okuzimba ekifo awanajjanjabirwa abagudde ku bubenje mu ddwaliro e Nkozi, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Osobola okuweereza obuyambi bwo ng’okozesa MTN Momo 721827, oba okuziweereza mu bank ya Centenary ku account No. 320665322, oba okwetaba ku kijjulo kya Kaliisoliiso Dinner Concert 2025, ekinabaawo nga 03 October, ku Hotel Africana.
Ku Kaliisoliiso Dinner waliwo emmeeza ez’emitemwa egy’enjawulo, okuva ku bukadde bwa shs 20, 10, 5, 3, ne shs emitwalo 300,000/= ayagala okusasula kinnoomu.