Vipers Fc ne Villa Jjogo ziwakanyizza ennambika empya eya liigi ya babinywera etandika sizoni ya 2025/2026 – CBS FM

Date:

 

Club ya Vipers FC  ne Villa Jogo Ssalongo bawakanyiza enambika empya eya liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, eyaleteddwa ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA egenda okukola okutandika ne season ejja eya 2025/26.

FUFA yafulumizza enzannya empya eya Uganda Premier League, nga okutandika ne season ejja, club zonna 16 zigenda kuvuganyiza mu miteeko oba round 3.

Mu kiwandiko ekitereddwako omukono president wa Vipers DR Lawrence Mulindwa ne president wa Villa Jogo Hajji Omar Mandera, abakulu bano bawakanyiza enzannya ya liigi empya gye bogeddeko nti siyabwenkanya era eyongera okusuula mupiira gwa Uganda.

Wabula president wa FUFA Eng Ssalongo Moses Magogo, oluvanyuma lw’enambika empya okulangirirwa, yakakasa nti egenderera okwongera okutekawo okuvuganya mu liigi, okutekawo obwenkanya mungabanya y’ensimbi n’ensonga endala.

Villa Jogo ne Viper bagasse ku KCCA eyasooka okuwandikira FUFA nga balaga obutali bumativu n’enambika eno.

Uganda Premier League season ejja esubirwa okutandika nga 26 omwezi ogujja ogw’omwenda, era Vipers be bannantameggwa ba season ewedde.

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe

Share post:

Popular

Also Read

Byanyima ready to negotiate for Dr Besigye’s release

Winnie Byanyima has said she is open to negotiations...

Ntale appointed URSB deputy registrar general URSB names Ntale to lead registries

KAMPALA, Uganda — The Uganda Registration Services Bureau has...

Mirai Insurance doubles down on digital sticker education

KAMPALA, Uganda — Mirai Insurance has launched an extensive...

Geosteady, Hindu Kay Hold Colourful Nikkah Ceremony

Singer Geosteady and Hindu Kay have today cemented their...