URA ekaansizza Nelson Ssenkatuka okuva mu Bright Stars – CBS FM

Date:

Nga club za liigi ya babinywera zetegekera Uganda Premier League season ejja eya 2025/26, club ya URA mu butongole erangiridde nga bwekaansizza omuteebi Nelson Ssenkatuuka.

 

Nelson Ssenkatuuka bamuwadde endagaano ya myaka 2, era avudde mu club ya Bright Stars.

 

Wadde club ya Bright Stars yasaliddwako okuddayo mu kibinja kya wansi ekya FUFA Big League,  naye season ewedde Nelson Ssenkatuuka yagiteebera goolo 5.

 

Ssenkatuuka yazannyirako club ya KCCA, ng’ajjukirwa n’okugiyambako okuwangula liigi ya 2016.

 

Mu URA gy’agenze asuubirwa okuziba eddibu lya Ivan Ahimbisibwe eyagenze mu KCCA ne Bruno Bunyaga eyagenda mu America. 

 

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe

Share post:

Popular

Also Read

Prima Kardarshi Explains Why She Lives Separately From Her Boyfriend and Why She Avoids Weddings

Socialite and beautician Prima Kardarshi has given her stance...

Da Agent Shares Emotional Story of Growing Up Poor in Bwaise, Surviving on Jackfruit Seeds

Lugaflow rapper Da Agent, real name Ivan Wabwire, has...

MamiDeb Considers Having Children Through Surrogacy and Adoption Following Cosmetic Surgery

Businesswoman and reality TV star, MamiDeb, real name Deborah...

How GROW Project business clinics will empower female entrepreneurs – Xclusive News

​KAMPALA, UGANDA:– In a significant move to bolster the...