Ababaka ba parliament abatuula ku kakiiko ka COSASE bawuniikiridde oluvanyuma lw’okukitegeerako nti kampuni ya Uganda airlines terina wejja supeeya w’ennyonyi zaayo.
Entabwe eva ku kampuni ya bombardier gyebaagulako ennyonyi, okutundibwa nga n’ababadde bakola supeeya nabo baasazeewo okuyimiriza emirimu gyayo, ekiyinza okukaluubiriza Uganda airlines singa wabeerawo ekyuma ekifa ku nnyonnyi z’eggwanga.
Akakiiko ka COSASE kasazeewo okuyita abaagula ennyonyi za Uganda airlines z’ekozesa babeeko byebannyonyola ku bigambibwa nti tebaasooka kukola kunoonyereza kwa ssimba ku kampuni ya bombardier eyali eteekateeka okuggalawo, nga balumiriza nti kino kiyinza okufiiriza eggwanga.
Ekitogole ky’ennyonyi y’eggwanga ki Uganda Airlines kyatandika mu butongole nga 28 august 2019, era bano baatandika n’olugendo oluva Entebbe okwolekera Nairobi.
Mu kiseera ennyonyi za Uganda Airlines zigenda ku ngendo ezenjawuĺo, ng’ekozesa ennyonyi nnya ez’omutendera gwa CRJ ez’ekika kya bombardier saako ne air bus 2.
Kampuni ya lufthanza technik ebadde ewa Uganda airlines supeeya w’ennyonyi, yategeezezza nti trgenda kuddamu kufulumya supeeya w’ennyonyi ekika Uganda z’erina, ekiyinza okuzibuwaza emirimu z’ennyonyi za Uganda airlines singa wabeerawo ekyuma ekifa ku nnyonyi zino.
Abakulira ekitongole ky’ennyonyi y’eggwanga Uganda airlines balabiseeko mu kakiiko ka parliament ak ka COSASE, nga bakulembeddwamu ssenkulu Jenifer Bamutulaki ne baakulembera okwanukula kubitatambula bulungi n’ebirumira ebyalabikira mu alipoota ya Ssaababalirizi w’ebitabo bya government ekwata ku kampuni gyebakulira eya Uganda Airlines.
Ababaka abatuula kukakiiko kano abakulembeddwamu ssentebe w’akakiiko Medard Lubega Sseggona, basoose kulagira aba Uganda airlines okubaako byebalambulula ku bya supeeya w’ennyonyi.
Mukwanukula Jenifah bamutulaki ategeezezza akakiiko Uganda airlines mu kiseera kino esobeddwa, temanyi mbeera egenda kuddako.
Bamutuulaki ategeezezza nti ne kampuni ya bombardier eyandibadde ebayamba nayo yagulibwa kampini ya misitubishi ekyongedde okubanyikka mu Nyanja y’ebirowoozo.
Wabula agumizza eggwanga nti nabo tebatudde nga mu kiseera kino baperereza kampuni emu eya America, ebeeko bwebayamba.
Gyebigweredde ka COSASE kasazeewo okuyita abantu bonna abaali emabega wokugula ennyonyi za bombardier, nga baali bakimanyi bulungi nti kampuni egenda kuggalawo akiyinza okuzibuwaza okufuna supeeya w’ennyonyi.
Bisakiddwa: Joseph Sseruwooza