Tiimu y’eggwanga lya Niger yesoose okutuuka mu Uganda okwetaba mu mpaka za CHAN ( African Nations Championship) ezitandika ku Saturday nga 02 August,2025.
Egidde mu kibinja omubadde abasambi, abatendesi n’abakungu nga bagidde mu nnyonyi ya Ethiopia Airlines ku saawa 6 ez’emisana.
Baaniriziddwa abakungu ba FUFA abakulembeddwa omumyuka ow’okusatu owa President w’ekibiina ekifuga omupiira mu Uganda ekya Fufa Owek Florence Nakiwala Kiyingi.

Libadde sannyu gyereere mu bakungu bano nabazanyi olwenyaniriza eye ssanyu gyebafunye ku kisaawe e Ntebe, era bagenze buterevu ku Serena Hotel mu Kampala gyebagenda okusulanga.
Tiimu eno eya Niger eri mu kibinja C ne Uganda,Algeria ne South Africa, nga yakusamba omupiira gwayo ogusooka ne Uganda nga 4/8/2025 mu kisaawe kya Mandela National Stadium e Namboole.
CHAN yetabwamu abazannyi bokka abazannya omupiira ogw’ensimbi mu mawanga gabwe mwennyini.#