Obwakabaka bwa Buganda bulabudde ne ssekulabula Abasajja abalagajjalidde obuvunaanyizibwa bw’Amaka negasasika, nga bekwaasa obusongasonga omutali.
Bwabadde aggulawo Ttabamiruka w’Abasajja mu Buganda ow’Omulundi ogwokubiri ayindidde mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ekisudde ekitiibwa ky’Abasajja mu Maka y’Enkola ey’Okwekwaasa obusongasonga.

Katikkiro asabye Abasajja Okusiga empisa mu Baana, okuwangana ekitiibwa mu Maka okulwanyisa entalo mu Maka, okubaako ebintu byebekolera ng’abasajja awaka omuli okugolola engoye zabwe n’ebintu ebimu byagambye nti tebissa kitiibwa kyabwe ng’abasajja bwebaba babikoze.
Minister w’Ekikula ky’abantu ,Bulungibwansi n’Obutondebwensi Owek Hajjat Mariam Mayanja, yebazizza Abaami olwokusitukiramu okwekubamu tooci okuzuukusa Okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe, era naabasaba obutaddiriza.

Omwaami wa Kabaka amukulembererako essaza Kyaddondo Kaggo Ahmad Magandaazi Matovu, asabye buli nteekateeka egendereddwamu okusitula ekitiibwa ky’Omusajja eyongerwemu amaanyi.

Omukugu mu kusomesa ku mbeera z’Abaami Rev. Nathan Balirwana Mugalu,asabye Abasajja okufaayo okuweerera Abaana, obuvunaanyizibwa baleme kubulekera bakyala, Kitaase eggwanga obulabe bweririmu.#