Ekibiina ekiddukanya omupiira ku ssemazinga Africa ekya CAF, nga bakolaganira ne FUFA n’olukiiko oluteekateeka empaka za CHAN wano mu Uganda, bongezza ebisale eby’okulaba omupiira Uganda Cranes bwenaaba ettunka ne Senegal mu mpaka za CHAN.
Omupiira guno gwa mutendera ogwa quaterfinal, era gugenda kuzannyibwa ku Saturday nga 23 mu kisaawe e Namboole ku ssaawa 11 ezakawungezi.
Senegal etuuse mu Uganda mu kiro ekikeesezza olwaleero nga 21 August,2025 okuva e Tanzania gyezanyidde emipiira egy’ekibinja.
Okuyingira mu kisaawe e Namboole okulaba omupiira guno kati kwa shs emitwalo 2, emitwalo 4 ne mitwalo 6.
Tickets zino zaaliinye okuva kw’ezo ez’ekibinja ezabadde omutwalo gumu, emitwalo 3 ne mitwalo 5.
Okutunda tickets zino kutandise amakya galeero nga 21 August,2025, kyokka zigenze okuwera essaawa musanvu ez’emisana, nga ticket ez’emitwalo 20,000 ziweddewo, wakyasigaddewo za mitwalo 40,000, ate ng’ez’emitwalo 60,000 tezitundibwa eri abantu abaabulijjo, zzo za bagenyi abenjawulo.
Uganda Cranes egenda kuzannya ku mutendera gwa quaterfinal omulundi gwayo ogusookedde ddala, kuba ebadde tevangako mu kibinja.
Okuva mu kibinja yalemaganye ne SouthAfrica goolo 3 – 3, ku mupiira n’okutuusa kati ogukyayogeza abantu obwama ku lukalu lwa Africa.