Ssese ne Kooki zitangaazizza emikisa egy’okuva mu kibinja – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2025 – CBS FM

Date:

Ttiimu y’essaza Ssese ne Kkooki zongedde okutangaaza emikisa gyabwe egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere.

 

Ssese ekubye Gomba goolo 1-0 mu kisaawe e Lutoboka Kalangala,  ate nga Kkooki erumbye Kabula omwayo mu kisaawe e Bakijjulula Lyantonde n’egikubirayo goolo 1-0. 

 

 

Ssese ewezeza obubonero 12, ate Kkooki ewezeza obubonero 11.

 

Omumyuka wa Kkweeba Owek Suzan Namubiru,  asinzidde mu Kisaawe e Lutoboka,  nakakasa nti kuluno Ssese tegenda kussa mukono,  era batandikiddewo okwetegekera Buddu gyebazzaako.

 

Suzan Namubiru asabye aba Ssese okwongera okuwa ttiimu yabwe obuvugirizi nga bwebasobola,  okukuuma omutindo gwe baliko. 

 

 

Emipiira emirala gyakuzanyibwa ku sunday nga 24 August,2025 mu kibinja Bulange, Buddu yakuzannya ne Busiro e Masaka, ate Busujju ettunke ne Buluuli e Kakindu. 

 

Mu kibinja Muganzirwazza Kyaggwe yakuzannya ne Mawogola e Mukono,  ate nga Ssingo yakuzannya ne Butambala e Mityana. 

 

Mu kibinja Masengere,  Bugerere ejja kuzannya ne Buweekula e Ntenjeru,  Mawokota yakuzannya ne Bulemeezi mu kisaawe e Buwama, ate Kyadondo yakuzannya ne Buvuma e Nakivubo.#

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe

Share post:

Popular

Also Read

KCCA Directed To Implement Axle Load Controls on City Roads

KAMPALA, Uganda — Lawmakers have directed the Kampala Capital...

Parliament, Defence Ministry Agree on Pay Rise for Army Privates

KAMPALA, Uganda – The salary of privates in the...

MPs Push UNBS to Retain Non-Tax Revenue for Better Standards Enforcement

KAMPALA, Uganda – Members of Parliament have urged the...

Lawmakers Order Entebbe Hospital To Expand Mental Health Unit

KAMPALA, Uganda — The Public Accounts Committee (Central Government)...