Ssaabasajja Kabaka atongozza enkola ya yinsuwa eya Tubeere Balamu – n’okujjanjaba abantu be mu lusiisira lw’ebyobulamu olukubiddwa mu ssaza Kyaggwe

Date:

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu okwettanira enkola za Yinzuwa naddala ezikola ku byobulamu, basobole okufunanga obujjanjabi obwetaagisa, mu kiseera kino ng’endwadde zeyongedde.

Mu bubaka bwatisse Omulangira Daudi Cchwa mu kuggulawo olusiisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa Kabaka Foundation ku mbuga y’essaza Kyaggwe e Mukono, Ssaabasajja alagidde abantu be okwekwata Yinsuwa olwo bayambibwe mu kaseera webeetaagira obujjanjabi baleme kukaluubirizibwa nnyo.


Mu kuggulawo olusiisira luno era Omulangira Daudi Cchwa mwatongolezza n’omukago wakati wa Buganda ne Yinsuwa ya Jubilee ey’ebyobulamu.

 


Olusiisira luno lwetabiddwamu enkuyanja y’abantu abazze okusomesebwa, okukeberebwa endwadde n’okuweebwa obujjanjabi byonna ku bwereere, n’abalala okugaba omusaayi


Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk.Kaggwa Ndagala agambye nti Ssaabasajja yalagira Kabaka Foundation okutalaaga amasaza ge gonna ng’ekubayo ensiisira z’ebyobulamu okukebera  abantu be endwadde,era ensiisira ez’engeri eno bakyazitegeka.

Lwetabiddwamu Omulabirizi w’e Mukono Enos Kitto era mmemba ku Bboodi ya Kabaka Foundation, minister w’ebyobulamu Owek. Cotilda Nakate Kikomeko, Ssekiboobo Vicent Matovu Bintubizibu, Ssenkulu wa Weerinde Insurance Omuk. Mirembe Ssensuwa n’abantu abalala bangi ddala.#

Share post:

Popular

Also Read

Iran is Not Against Neighbors – H.E Majid Saffar

H.E. Majid Saffar, the Ambassador of the Islamic Republic...

BREAKING! Museveni renews UIA Director General Mukiza’s contract – UG Standard

KAMPALA, Uganda — President Yoweri Museveni has renewed the...

Azawi Admits She Avoids Stage Clashes with Ray G Due to His ‘Crazy’ Fans

Swangz Avenue signee Azawi, real name Priscilla Zawedde, has...

Navio Criticizes Phone Obsession at Concerts, Compares 2000s and Today’s Music Industry

Rapper Navio has compared the music industry in the...