Ssaabasajja Kabaka asiimye naalonda Ssentebe omuggya ow’olukiiko olukulembera Muteesa I Royal University – CBS FM

Date:

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii yasiima nalonda Dr Mulindwa Kasozi okubeera Ssentebe w’Akakiiko akaddukanya ssettendekero we Owa Muteesa the First Royal University ,Okudda mu bigere bya Ssentebe omuwummuze Dr Mary Gorret Nakabugo.

Bw’abadde alangirira olukiiko luno olw’omulundi ogwomusanvu ku Muteesa the First Royal University e Mengo , Omumyuuka asooka owa Katikkiro Owek prof Twaha Kawaase Kigongo asabye ba memba ku lukiiko luno Okumanya nti baweereza Ssaabasajja, era bakole ebimuweesa ekitiibwa.

Owek Kawaase Kigongo asabye olukiiko luno okussa essira  ku bisomesebwa abayizi okukaka nti byebyo ebituukanye n’omutindo, mu ngeri eyenjawulo naalabula ku neeyisa y’Abayizi ey’Okujingirira ebiwandiiko n’Okukumpanya ebibuuzo.

Minister w’Ebyenjigiriza n’Enkulaakulana y’abantu ba Kabaka  ne office ya Nnaabagereka Owek Chotildah Nakate Kikomeko ,asabye nti Omutindo gw’Abayizi abafuluma gunyweezebwe.

Vice Chancellor wa Ssettendekero wa Beene Prof Vincent kakembo, yebazizza Obukulembeze obuwummudde olw’ebirungi ebituukiddwako, omubadde ssettendekero okufuna Charter, Okukola emikwano ne bannamikago mu kisaawe ky’Okunoonyereza, ne mu ngeri endala nyingi.

Ssentebe awummudde Dr. Mary Gorret Nakabugo yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’omukisa gweyamuwa okuweereza emyaka ena, kyokka nategeeza nti okubalukawo kwa COVID 19 newankubadde kwagitaanya ebintu bingi, tekwazza ssettendekero wa Kabaka Mabega.

Ssentebe omuggya Dr. Mulindwa Kasozi yebazizza Beene okusiima naamugonnomolako obuvunaanyizibwa, era yeeyamye okubutuukiriza.

Ba memba abali ku lukiiko oluggya kuliko Dr Nawoova Deborah Omumyuuka wa Ssentebe, Prof Achileo Kaaya, Eng Ssekatawa Edward, Dr Kibirige Ali, Prof Edward Bbaale, Prof Damalie Najjita, Omuk Mawejje William, Prof Maria Musoke, Dr Nakimuli Leticia, meeya we Masaka Florence Namayanja, Omuk Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene, Omuk Abdul Kyaanika, Omuk Nampijja Jackline n’abalala.

Share post:

Popular

Also Read

Nina Roz Says Political Support Must Be Earned, Not Bought

Musician and politician Nina Roz, real name Nina Kankunda,...

Desire Luzinda, Levixone Hold Colouful Wedding Ceremony: VIDEO

Gospel musicians Levixone and Desire Luzinda have today successfully...

Ugandan aviation expatriate Bainomugisha’s sex secrets with wife’s sister shock family – Xclusive UG.

A Ugandan aviation expatriate based in Monrovia, Liberia is...

NUP adjusts vetting dates to align with Electoral Commission timeline

The National Unity Platform (NUP) has rescheduled the start...
Verified by MonsterInsights