Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obusaasira ab’enju y’omugenzi era abadde munywanyiwe, Omulamuzi Prof. George Wilson Kanyeihamba.
Obubaka bwa Ssaabasajja bwetikiddwa Omulangira Rev Daniel Kajumba, era ng’abukwasizza mulekwa Joel Martin Kanyeihamba.

Ebimu ku biri mu Bubaka, Beene agambye nti Omugenzi abadde mulwanirizi wa Ddembe ly’abantu Kayiingo, omukulembeze ate omuwabuzi ku nsonga ezenjawulo.
Maasomooji yeebazizza Omugenzi Kanyeihamba olw’obumalirivu bwabadde nabwo ku nkulaakulana y’Eggwanga, agunjudde bannamateeka nkuyanja, ate ng’abadde ayagala nnyo Obwenkanya n’Amazima.
Nnyininsi awabudde abakulembeze abakyaali abato okuyigira kubikoleddwa Prof Kanyeihamba.

Oggwoto gukumiddwa mu makaage agasaangibwa e Buziga mu gombolola ye Makindye mu Kampala.