Ssaabaminister Nabbanja ayanjjudde enteekateeka ya government ey’okuddamu okwekennenya emisolo egyavuddeko abasuubuzi mu Kampala okwekalakaasa

Date:

Ensonga z’abasuubuzi:
Ssaabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja ayanjudde enteekateeka government gyegenda okuyitamu okukendeeza ku bbeeyi y’emisolo egitabudde abasuubuzi mu Kampala, nebatuuka okwekalakaasa.

Ssaabaminister abadde mu ppulogulamu Kkiriza oba Ggaana eweerezebwa ku mpewo za 89.2 Radio aemmanduso, ebadde eweerezebwa Kalule Lameck.

Ssaabaminister asoose mu kafubo kaabaddemu naabasuubuzi abamusisinkanye ku wofiisi ye mu Kampala, nebamunnyonyola ensolooza y’emisolo egisulkiridde egigobye bangi mu business z’okifiiriza eggwanga.

Abasuubuzi mu Kampala baasazeewo okuggala amadduuka gabwe okumala ennaku bbiri nga bemulugunya mu misolo emingi naddala abasuubula engoye, abagerekebwa emisolo nga gyesigama ku buzito oba kilo z’engoye.

Bamunnyonyodde nti ekyewunyisa, kwekuba nti engoye ezisiinga obuzito zebaggyako emisolo emingi nga besigama ku kilograms zaazo, nti ate zzo zibeera za layisi.

Ssaabaminister Nabbanja asuubizza omusolo gwa kilo gugenda kuddamu gutunulwemu, abachina nabagwira abalala ababadde batumda ebintu ebitundibwa bannansi nabo bagenda kuddamu balambikibwe, waliwo n’abasuubuzi ababadde bakwatiddwa mu kwekalakaasa nabo bayimbuddwa ku kakalu ka kooti.

Oluguudo lwe Nakawuka:
Ssaabaminister agambye nti ekibadde kikyalemesezza oluguudo lw’e Nakawuka mu Wakiso, nti government ebadde ekyaliyirira abantu abagenda okukosebwa oluguudo, wabula nti kati abasinga bamaze okubaliyirira era kati omulimu gugenda kutandika.

Oluguudo oluva e Busega okuyita e Nateete Kibuye: agambye nti nalwo enteekateeka zikolebwa kuzimbibweko oluguudo oluyita waggulu, okuva ku Ssaawa ya Kwini mu Kampala.

Ssaabaminister atabukidde abakulembeze ku ludda oluvuganya government baagambye nti bakotoggera enkulaakulana naddala mu Kampala, nga buli ekireetebwa bakiwakanya, saako okukola ebintu ebitalina kyebigasa muntu wa bulijjo.

“NRM tusala magezi ku ngeri y’okumalawo ebizibu, mwe ate mulabisa bulabisi, mulowooza okulabisa kulina kyekuyamba abantu? Bwebuzze mutulabisa olwo netubaaki?”- Ssaabaminister Robinah Nabbanja

Awadde eky’okulabirako ekya district eziri mu byalo ezirina enguudo ennungi, nagamba nti abakulembeze ba Kampala, bebagiremesezza emabega, olw’okuwakanya buli nkulaakulana ereetebwa.

Ayambalidde Lord Mayor gwagambye nti eby’okukola ebigasa Kampala yabivaako, nagamba nti  Bwaba talina buyinza bukola byalina kukola eby’obukulembeze abiveemu.

Omwala gwe Nakivubo:

Ssaabasminister Nabbanja alambise ku nteekateeka ya Hamis Kiggungu ey’okukulaakulanya omwala gwe Nakivubo, nagamba nti agenda kuziimbako ebintu ebyenkulaakulana amaduuka n’ebifo by’okuwummuliramu, n’okubikka omwala ogwo ogubadde gufuula ekibuga ekisekererwa, nga gujjula kasasiro owa buli kika.

Share post:

Popular

Also Read

Eddy Kenzo Confirms Return to UNMF Leadership After Says The Federation Issues Have Been Resolved

Musician Eddy Kenzo has retracted his statement about retiring,...

Ugandan Parliament Honors Late Kenyan Political Giant Raila Odinga

KAMPALA, Uganda (AP) — Ugandan lawmakers paid tribute Monday...

Ugandan Legislators Renew Calls to Address Teachers’ Pay Disparities

KAMPALA — Ugandan lawmakers are urging the government...

Museveni Urges Patience on Public Pay Raises, Citing Infrastructure as Priority

ADJUMANI – President Yoweri Museveni reaffirmed his government’s commitment...