Rhoda Kalema aziikiddwa mu bitiibwa by’eggwanga – bamukubidde emiziinga 7 – CBS FM

Date:

Abakulembeze ab’enjawulo bamwogeddeko ng’omuntu abadde ow’enjawulo mu ngeri gy’abadde akolamu ebintu bye.

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni obubakabwe bumusomeddwa Omumyuka asooka owa Ssaabaminister Rebecca Alitwala Kadaaga, ayogedde ku mugenzi nga omuntu abadde mwoyo gwa ggwanga.

Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka busomeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, era Omutanda asiimye emirimu egikoleddwa Rhoda Kalema mu bulamu bwe, era nti yali mpagi luwaga mu nteekateeka zokuzza Obwakabaka.

Katikkiro naye atenderezza omugenzi olw’engeri eyenjawulo gyabadde akolamu ebintu, awadde ebyokulabirako Okuli omugenzi okuba nga y’omu ku bakazi abaasooka okusomera mu matendekero aga waggulu, okufuna obufumbo nabunwyereramu era naakuza n’abaana mu ngeri eweesa ekitiibwa, okulwanirira obwetwaze bwa Uganda, okulwanirira Ddembe ly’obuntu n’ebirala.

Owek.Robert Waggwa Nsibirwa ng’ayaniriza Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kuziika Rhoda Kalema

Katikkiro era avumiridde abagobaganya abakyala mu Bika gyebabeera bafumbiddwa, baayogeddeko nti babeere baagala kubabbako Bintu byebakoze neba bbaabwe.

Obubaka bwa Parliament ya Uganda busomeddwa kamisona Owekitiibwa Mathias Mpuuga Nsamba, yeebazizza nnyo omugenzi olw’okwagazisa bannauganda eggwanga lyabwe .

Obulabirizi bw’Emityana nabwo bukungubagidde omugenzi nga bino bibadde mu bubaka bw’omulabirizi w’obulabirizi bw’eMityana Right Rev Dr. James Bukomeko  obumusomeddwa Rev James Kityo Ssemuyaba.

Ku lwenju y’eyaliko  Katikkiro wa Buganda omugenzi Martin Luther Nsibirwa, Omuwanika wa Buganda era Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro Owekitiibwa Robert Waggwa Nsibirwa yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka n’abantu ab’enjawulo mu Bwakabaka ne government eyawakati okubabeererawo mu kaseera akazibu.

Atenderezza nnyo omugenzi olwobuvunaanyizibwa bwabadde ayolesa nga kwotadde n’okubeera omukozi ennyo.

Omutaka w’Ekika ky’Envuma Kyaddondo Kasirye Embuga Eramula mu bubaka obumusomeddwa Katikkirowe ow’okubiri Lugoloobi Lawrence, atenderezza nnyo omugenzi olw’ettoffaali eddene lyatadde ku kikaakye.

Katikkiro Mayiga ng’alamusa ku baana b’omugenzi Rhoda Kalema

Abaana b’omugenzi nga bakulembeddwamu Joyce Kibatte beebazizza Katonda olw’ekirabo ky’obulamu obujjudde ebibala bwawadde nnyaabwe, ate era beebazizza omugenzi okubagunjula nebafuuka abantu abomugaso eri eggwanga nga kwotadde n’okubakuliza mu ddiini.

Bba wa Rhoda Kalema eyali ayitibwa William Kalema yattibwa ku mulembe gwa Idi Amin.

Ku Lwa Uganda women’s network nga kino omugenzi yali musaale mu kutandikibwawo kwakyo,   Miria Matembe asabye abantu okufuna  eky’okuyiga waakiri kimu ku birungi ebingi omugenzi byabadde nabyo.

Rhoda Kalema aziikiddwa abantu bangi ddala, Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda abaddewo, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, Oweek Ssalongo Sserwanga Robert, abakulembeze b’ebitongole ne  bannaddiini.

Share post:

Popular

Also Read

Kigata High School Launches Alumni Association with a 40 million shillin – Xclusive UG.

By Innocent Ruhangariyo Kabale-Kigata High School has proudly announced the...

Sheebah Karungi Vows to Release Disputed Nobody Song Amid Feud with Former Management

Songstress Sheebah Karungi has hit back at former manager...

Ekiri mu Fayinolo za Bbingwa 2025 e Masaka kunyumirwa na kuwangula birabo – CBS FM

Bannabyamizannyo abenjawulo bewangulidde ebirabo, fayinolo wa Bbingwa 2025, ayindira...

Lydia Jazmine Says Fear and Distrust Stop Female Celebrities from Finding Genuine Love

Musician Lydia Jazmine, real name Lydia Nabawanuka, has addressed...
Verified by MonsterInsights