Eyaliko omumyuka wa Ssenkulu wa Makerere University Prof. Livingstone Sserwadda Luboobi avudde mu bulamu bw’ensi ku myaka 80 egy’obukulu, afiiridde mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga 16 July,2025.
Yazaalibwa nga 25 December,1944 e Kaliisizo mu district ye Kyotera.
Ekifo ky’omumyuka wa Ssenkulu wa University y’e Makerere yakirimu wakati wa 2004 ne 2009.
Prof. Luboobi abadde mukenkufu mu ssomo ly’Okubala ( Biomathematics), era nga yatandika okusomesa ku University eno mu mwaka gwa 1970.
Amyuka Vice Chancellor wa Makerere University mu kiseera kino Prof. Barnabas Nawangwe agambye nti Prof. Luboobi yakola nnyo okukuumira Makarere ku mutindo weyabeerera Vice Chancellor mu biseera ebyali eby’okusoomoozebwa.
Eyali omwogezi wa Prof. Luboobi, nga ye Hellen Kaweesa nga mu kiseera kino aweerereza mu parliament, amwogeddeko ng’omusajja abadde teyegulumiza ku bantu balala wadde ng’abadde musajja muyivu ate nga mugezi nnyo.
Prof. Livingstone Sserwadda Luboobi azaalibwa Kyotera era nga baabazaala abaana 11 nga yeyali omuggulanda, wabula baganda be bonna 10 bebaamusooka okufa.