President wa Uganda era ssentebe wa NRM Yoweri Kaguta Museveni, alonze munnamateeka John Musiime okukulembera akakiiko akawuliriza n’okutaawuluza entalo mu NRM.
Musiime wakukulemberamu akakiiko kano akaliko abantu 28 nga nabo bannamateeka, era nga kagenda kutaandikira kukutaawuluza enkaayana eziyinza okuva ku kamyuka ka NRM ak’omwaka 2025.
Akakiiko kano era kakutabulira wamu n’ekitongole kya NRM eky’ebyamateeka ekikulirwa munnamateeka Enoch Barata.