Poliisi etaddewo ensimbi obukadde ataano eri omuntu yenna alina amawulire oba amayitire g’omusajja alabikira mu katambi, agambibwa nti yeeyatemula abafumbo David Mutaaga ne Deboral Florence Mutaaga abaali abatuuze b’omu Lugonjo Ntebe.
Alina amawulire agakwata ku mutemu wakugayisa ku number y’essimu +256-769 675 918.
Omutemu yeesolosa mu maka ga David Mutaaga nga 6 July,2025 nebasalaasala okutuusa bweyabatta.