Byaruhanga Hillary abadde akola ne kampuni ya don world security akubye Mutinisa Anthony essasi namutirawo.
Mutinisa abadde yaleeta Byaruhanga okukuuma kampuni ye eyigiriza okuvuga emmotoka eya Mutinisa Motors and driving school esangibwa e Bulindo, mu Kira municipality mu district ye Wakiso.
Kigambibwa nti omusirikale wa kampuni zobwananyini ono bweyamaze okukuba mukama we essasi, nakuuliita n’emmotoka ye namba UA 769BQ n’ekisawo ekiteeberezebwa nti kyabaddemu ensimbi ezitanamanyika muwendo.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala ne miriraano Luke Owesigire awabudde banyini kampuni z’abasirikale b’obwannannyini okugoberera ebiragiro ebyabaweebwa Ssaabapolice, ebyokwekenenya abasirikale bebakozesa okukakasa nti basanidde.
Luke agambye nti omuyigo ku mukuumi ono kwatandise okulaba ng’akwatibwa.#