Police Entebbe etandise okunoonyereza ku ssemaka ateherekeseeko erinnya limu lya Herman, alumbye mukazi we bwebaali baayawukana emyaka 4 egiyise, naateekera omuliro omuzigo mwabadde asula.
Bino bibadde ku kyalo Nkumba Bufulu mu town council ye Katabi, era nga bibaddewo ku ssaawa nga mwenda mu kiro ekikeesezza olwa leero nga 22 July,2025.
Ennyumba gyateekedde omuliro mubaddemu ne Saloon, era nga omukyala Jackline Nayiga mwabadde agya ekikumi okubezaawo abaanabe.
Abamu ku bantu abazze okudduukirira embeera eno, bategeezezza nti Herman abadde aludde nga yewuuba ku mukyala baddingane,era olugaanye kwekusalawo ateekere omuzigo gwe okubadde ne saloon Omuliro yonna n’ebengeya neggwawo.
Okusinzira ku nnyini mnyumba ezookeddwa, Ssalongo Kibuuka, Nayiga yajja okumupangisaako ennyuma oluvanyuma lw’okwawukana ne bba eyali yasiinga ennyumba yabwe mu bank ku kyalo Bukandekande.
Ssentebe w’ekyalo John Chrizestom Luboobi agambye nti Herman ateeberezebwa okwokerera mukaziwe police emukutte.
Ate omukyala Nayiga Jackline abadduukirize bamuddusiza mu kalwaliro ddwaliro nga takoseddwa muliro, wabula nga azirise olwokutunula ku biziness ye eya saloon nga yonna esaanyeewo.
Bisakiddwa: Kakooza George William