Police mu Kampala n’emiriraano ekutte abantu 3 abagambibwa nti balina akabinja kebaatonzewo akagenda kalumba amakolero mu bitundu ebyenjawulo ne baganyagulula.
Abakwatiddwa ye Kyazze Robert, Lubega Robert ne Kasozi William, nga kigambibwa nti baatondawo akabinja k’ababbi, akalondoola amakolero naddala amanene ne baganyako ensimbi.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire asinzidde mu lukuηηaana lwa banamawulire ku Kitebe Kya police e Nagguru, naategeeza nti police yasoose kufuna mawulire nti abasatu bano ne bannaabwe abalala abaadduse, balina ekkolero lyebaabadde bateekateeka okubba, kwekubalinnya akagere.
Police erondodde emmotoka yabwe mwebabadde batambulira, era nga wabaddewo n’okuwanyisiganya amasasi abagambibwa okuba ababbi 3 nebakwatibwa ate abalala nebadduka.