Parliament kyaddaaki eyawuddemu akakiiiko kaayo akalondoola ebyentambula ,enguudo , amayumba ,ebizimbe n’emirimu egigasiza awamu abantu, kati etonzeewo akakiiko aketongodde akalondoola ensonga zeby’ettaka
Akakiiko kano katuumiddwa committee on Lands.
Katondeddwaawo oluvanyuma lwennongosereza mu mateeka agafuga parliament ezaakolebwa akakiiko ka parliament akakwasisa empisa.
Parliament yakaanya era neeyisa nti akakiiko akaawamu akalondoola ettaka,amayumba ,enguudo nebyemtambula kaalina emirimu mingi, kwekusalawo kaawulwemu etondewo akakiiko aketongodde akalondoola eby’ettaka.
Ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kironze omubaka we Buyamba, Ssemwanga Gyaviira okubeera ssentebbe waako asookedde ddala, wakumyuukibwa omubaka we Omoro, Andrew Ojok Oulanyah nababaka abalala abagenda okubeera ba memba.
Akakiiko Kano kegase ku bukiiko obulala obubaddewo okuli akalondoola ebyobulamu,akalondoola ebyobulimi ,akalondoola ekikula kyabantu,akalondoola ebyenfuna ,akalondoola ebyobusuubuzi ,akalondoola ebyamateeka, akalondoola ebyempuliziganya ne tekinologiya,akalondoola obutonde bwensi nobulala
Ababaka abassiddwa ku bukiiko bakubutuulako okutuuka ku nkomerero y’omwaka gwekisanja kya parliament eye 11 ogusembayo, kigwako mu May 2026.
Sipiika wa Parliament Annet Anita Among ayise ba ssentebe bobukiiko bwonna abaalondeddwa, abasisinkane olwaleero nga 30 July,2025 okukaanya ku mirimu parliament gyegenda okusaako essira mu mwaka guno ogusembayo ogwa palament eye 11.#