Akakakiiko ka parliament akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya government aka COSASE katandise okunoonyereza ku mutemwa gw’ensimbi Obwakabaka bwa Buganda gwekabanja buli kitongole kya government, ekigendererwa kyakwongera kutema mpenda ez’okuddiza Buganda ebyayo mu bujjuvu.
Ssentebe w’akakiiko ka COSASE Owek Medard Lubega Sseggona asisinkanye abaddukanya ekitongole ky’amazzi ki National Water and Sewerage Corporation, nga kino kyekimu ku bitongole bya gavumenti Buganda byebanja obutitimbe.
Obwakabaka bwa Buganda buzze bukinogaanya kaati nti bubanja government eyawakati obuwumbi bwa shs obusukka mu 500 olw’okukozesa ebizimbe, ettaka n’ebintu ebirala Ebyobwakabaka, kyokka omubalirizi wa government yafulumya omutemwa nga guli wansi gwa buwumbi 158 bwokka.
Dr. silver Mugisha akulira ekitongole ky’amazzi mu ggwanga ki NWSC yaakulembeddemu ab’etongole ky’atwala okulabikako mu kakiiko ka COSASE okulambulula ku birumira ebyalabikira mu alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya government ey’omwaka 2024.
Ssentebe w’akakiiko ka COSASE owekitiibwa Medard Lubega sseggona, asabye ab’ekitongole ky’amazzi okulambulula ku muwendo gw’ensimbi omutuufu Obwakabaka bwebubanja ekitongole kino, naddala ku ttaka erikozesebwa ekitongole kino nga lya Bwakabaka lyebakozesezza emyaka n’ebisiibo awatali kusasula.
Dr silver Mugisha ategeezezza akakiiko nti mu kiseera kino bakyanoonyereza okuzuula omuwendo gw’ensimbi omutuufu nga bawabulwa Ssaabawolereza wa government.
Ssentebe w’akakiiko Medard Lubega ssegonna n’omubaka Nathan itungo Bagamba nti baakuyita ebitongole bya government byonna ebikozesa ebintu by’Obwakabaka, okwongera okuzuula omutemwa omutuufu ogubibanjibwa, olwo akakiiko kafulumye alipoota ey’essimba
Bisakiddwa: Joseph Sseruwooza