Ekitongole kya Nsindika Njake ekiteekateeka omwoleso gw’ebyobulimi n’obulunzi nga bali wamu n’ekitongole kya NARO,batandise kawefube ow’okubangula ebibiina bya CBS Pewosa okwongera ku mutindo gw’ebintu byebakola nga tebanabitwala mu mwoleso.
Omwoleso gw’ebyobulimu n’obulunzi ogwa CBS Pewosa 2025 gugenda kubeera e Masaka nga 10 okutuuka nga 15 September.
Abamu ku bakyala ba cbs Pewosa abatwaliddwa e Kawanda mu bbanguliro ly’ebyokunoonyereza ku by’obulimi nebasomesebwa ku by’okwongera omutindo ku byebakola.
Dr Elizabeth Ahasa akulira ebyokunoonyereza ku by’emmere mu bbanguliro lino, agambye nti entekateeka yabwe yakuyambako abantu abatandikawo emirimu emitonotono era yebaziza cbs olwentekateeka eno.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif