Omuyimbi Halimah Namakula awerekeddwako abayimbi abenjawulo n’akiika embuga, okuwoza olutabaalo olw’emyaka 50 ng’ayiimba n’okusanyusa bannauganda.
Halinah Namakula ategese ekivvulu ku Serena Hotel mu Kampala, nga 26 July,2025 egenda okubeer entikko y’ebijaguzo bye eby’emyaka 50.
Katikkiro wa Buganda amusisinkanye n’abayimbi abalala bazze nabo, n’amwebaza olw’okussa ettofaali ku kisaawe ky’okuyimba n’emirimu emirala gy’akoze naddala okuyamba ku baana abawala.
“Halimah Namakula mukyala mulwanyi nnyo era bannabitone beetaga bamulabireko nabo bakuze ebitone byabwe nga beewa ekitiibwa n’okunyiikira okukola” Katikkiro Mayiga