Omuyimbi Cindarella Sanyu ‘Cindy’ akiise embuga, okwanjulira Katikkiro Charles Peter Mayiga ekivvulu kye ekinabaawo ku Friday nga 29 August,2025 e Lugogo.
Cindy awerekeddwako omuyimbi Navio, n’abantu abalala bangi, nebasisinkana Katikkiro mu Bulange e Mengo.
Katikkiro yebazizza Cindy okufaayo ku kitone kye ate n’okukiwa obudde olwo n’afulumya ebinyumira abantu.
Ategezezza nti okufuna mu kintu kyonna oteekwa okukiwa obudde.
“Munnabitone okuweereza abantu emyaka 20 ne basigala nga bakuyaayanira era nga basiima by’okola si kyangu, kale Cindy mmwebaza obumalirivu n’okulemerako mu mulimu gwe” Katikkiro Mayiga