Omutendera ogusooka ogw’okuzimba ekisaawe kya Kyambogo University guwedde – mu kwetegekera empaka za CHAN 2025 – CBS FM

Date:

Omutendera ogusooka ogw’omulimu gw’okuzimba ekisaawe kya Kyambogo University gukomekerezeddwa ,  era nga kyakukozesebaa  mu mpaka za Africa Nations Championship CHAN ez’omwaka guno 2025.

Omutendera ogusooka ogw’okuzimba ekisaawe kino kubaddeko okusimbako omuddo ogutukana n’omutindo,  okuzimbako ebisenge abazannyi gye bambalira,  okuzimbako ekikomera,  okutekamu entambula y’amazzi ey’omulembe ate n’okutekamu ebitaala.

Omulimu gwonna nga guwedde government egenda kusasaanya ensimbi obuwumbi 14 n’omusobyo.

Omutendera oguddako ogw’okubiri ogw’okuzimba, mulimu okuzimba ekifo kya VIP abawagizi we batuula,  okuzimba office omukolerwa emirimu,  okuzimbako ekisaawe kya Tennis ne Basketball,  n’ekisenge ky’abasawo.

Ekisaawe kino ekye Kyambogo bye bimu bisaawe ebigenda okukozesebwa okutendekerwamu ttiimu ezigenda okwetaba mu mpaka za Africa Nations Championship CHAN ez’omwaka guno,  ng’ebisaawe ebirala kuliko Wankulukuku, ekisaawe kye Namboole eky’ebweru,  ne Kadiba.

Empaka za Africa Nations Championship CHAN zigenda kutegekebwa Uganda,  Kenya ne Tanzania okuva 02 okutuuka nga 30 August,2025.

Uganda Cranes eri mu kibinja C ne Algeria,  Guinea,  Niger ne South Africa,  era ekibinja kigenda kuzannya emipiira gyakyo mu kisaawe e Namboole.

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe

Share post:

Popular

Also Read

Twesigye Leopold Nominated for Central Division LC3 Chairperson Seat on PFF Ticket – Xclusive UG.

Kabale-Twesigye Leopold, the current Central Division councillor in Kabale...

Bucha Man Accuses Government of Denying Him Funding Over Past Ties with Bobi Wine

Musician Bucha Man accuses the government of failing to...

How RDCs can help safeguard Government medicines – Xclusive UG.

Uganda has made notable progress in delivering essential medicines...

Wakiso: Little enthusiasm as nominations kick off

The race for the 2026 parliamentary elections kicked off...