Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kigalama kiduukulu ekisangibwa mu gombolola ye Myanzi mu district ye Kassanda, omusajja ateberezebwa okuba n’Ekikyamu ku bwongo, bwakkidde omusumba w’abalokole n’amufumita ebiso ebimuggye mu budde.
Okusinziira ku mwogezi wa police etwala Wamala region, Michel Tiriyeetu agambye nti ateeberezebwa okuba omutemu ye Emmanuel Baligye munnansi wa Rwanda, nti yafumise Pastor Julius Tugume owokukyalo Kyakatebe mu gombolola ye Nalutuntu mu district ye Kassanda.
Kigambibwa nti Barigye aliko omukazi ategeerekeseeko limu lya Juliet gweyabadde alumbye ng’ayagala okumufumita, olwo Pastor Tugume kwekugezaako okumutaasa, Barigye naamukyukira naamufumita ekiso ku kibegabega naavaamu omusaayi mungi.
Yaddusiddwa mu ddwaliro lya Kassanda Health Centre IV, gyeyafiiridde nga yakatuusibwa.
Afande Michel Tiriyeetu agambye nti Emmanuel Barigye bamukutte asooke atwalibwe mu ddwaliro akeberebwe omutwe, bwebazuula nga mulamu atandike okuwerennemba n’ogwobutemu.