Site icon UG Trendz

Omusibe afiiridde ku kadduukulu ka police e Bugweri – CBS FM

Police ye Bugweri etandise okunoonyereza kukyaviiriddeko omusibe, Gabantu Joel okufiira mu kaduukulu ka police e Busembatia.

Omwogezi wa police mu kitundu ekya Busoga East, SP Kafaayo Mike agamba nti Gabantu yasoose kwezooba ne police ng’emukwata,  ku bigambibwa nti yabadde alina essimu y’omukyala gyabbye,oluvannyuma nemukkakanya nemusaayo mu kaduukulu.

SP Kafaayo agambye nti police eriko abasirikale 3 bekutte bagiyambeko mu kunoonyereza kuno.

Bisakiddwa: Kirabira Fred

Exit mobile version