Olukiiko oluteekateeka empaka za CHAN mu Uganda, lukakasiza nti omupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu gugenda kubeera gwabwereere, nga akabonero ak’okusiima bannauganda obuwagizi bwabwe eri empaka zino okuva lwe zaatandika.
Sudan egenda kuzannya ne Senegal mu mupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu ku Friday nga 29 August,2025 e Namboole kussaawa 12 ezakawungeezi.
Dr. Dennis Mugimba ssentebe w’olukiiko oluteekateeka empaka zino wano mu Uganda, akinogaanyizza nti CAF yataddewo tickets 28,000 ku mupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu.
Olukiiko basazewo okuzigulira abawagizi bayingirire bwerere okubebaza obuwagizi n’obujjumbize mu mpaka zino.
Dr Dennis Mugimba era akinogaanyizza nti okufuna tickets zino ez’obwereere, era zifunibwa ku mutimbagano kwokka, era omuntu alina kutekayo bikwatako nga bwegubadde olwo naateekamu ne code eya CHAN3RD.
Tickets zonna zigenda kubeerako ekigambo nti NOT FOR SALE, kyokka era esigadde eriko byonna ebikeberebwa okuyingira ekisaawe.
Wabula era CAF ekakasizza nti abo abadde baaguze tickets zino nga tezinnaba kufulibwa zabwerere, bagenda kukolebwako.
Final y’empaka za CHAN egenda kuberawo ku lw’omukaaga luno nga 30 mu kisaawe kya Moi International Sports Center e Nairobi Kenya, nga Madagascar egenda kwambalagana ne Morocco.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe